Abawagizi ba NTV badduukiridde Violet Kokunda
Violet Kokunda eyatemwako amagulu olw'ekirwadde kya Sukaali mu mboozi gyetwakulaga gyebuvuddeko afunnye abamuddukirira nakagaali akanaamuyambanga okutambula.Ono era aweereddwa ssente ezisondeddwa abantu abettanira ennyo omutimbagano oluvanyuma lw'emboozi gyetwakola .Munnamatteeka Tonny Tumukunde yeyakulemberamu okusonda ensimbi ku mukutu gwa X okusobola okugulira Kokunda akagaali era yakatutteyo olwaleero .Omukyala ono mukifo kyokwekubagiza naye yetanira omutibagano okusomesa abantu ku bikwatagana ku kirwadde kya Sukaali era nga okutambula kwe mu bantu kubadde kulemesebwa lwantambula.