Agambibwa okukabasanya ow’emyaka 8, basanze eggumba ly’omuntu mu ssabo lye
Omusawo w'ekinnansi agambibwa okukabasanya omwana ow'emyaka omunaana, ebigambo byandyongera okumwonoonekera ba mbega ba poliisi n'abakulira abasawo b'ekinnansi mu munisipaali y'e Nansana bwe basanze eggumba erirowoozebwa okuba ery'omuntu mu ssabo lye. Dan Mubiru ono twamukulaze olunaku lw'eggulo, nga family y'omwana gw'agambibwa okukabasanya yeemulugunya ku ngeri ensonga gye zikwatiiddwamu. RDC, poliisi n'abakulembeze abalala olwaleero basazeewo okumutwala mu makage okwaza okukakasa abatuuze nti okunoonyereza kukyakolebwa era ng'ono wakusimbibwa mu mbuga z'amateeka akadde konna.