Alipoota ya poliisi eya 2024 eraze nti obuzzi bw’emisango bukendeedde
Alipoota ekwata ku buzzi bw'emisango mu mwaka oguwedde efulumiziddwa poliisi olunaku olwaleero eraze ng'emisango egyalopebwa ku poliisi mu mwaka 2024 bwegyakendeera n'ebitundu bina n'akatundutundu kamu ku buli kikumi bw'ogeragerenya n'egyo egyaloopebwa mu mwaka gwa 2023. Kyokka wadde nga guli gutyo emisango egikwata ku buli bw'enguzi, obunyazi n'abantu okutibwa gyo gyeyongerako obungi mu mwaka oguwedde okusinga ne bwegwali mu mwaka gwa 2023.