Bamaze mu nkambi emyaka 10:Abaagobwa ku ttaka e Kikuube balaajanye
Waliwo abantu abasukka mu 300 betusanze mu maziga olwennaku gyebalabidde mu nkambi gyebaasulibwamu neberabirwa kati emyaka gyisukka mu 10 oluvanyuma lwokusengulwa ku bibanja byabwe mu mwaka gwa 2013 nebizimbwaako factory ya sukaali. Bano bali ku kyaalo Kiiziranfumbi mu District eye Kikuube era nga wetwogerera abaana baabwe abasukka mu 200 tebasoma olwokubulwa ebisale .