Besigye ekkomera lyamwawula ku basibe abalala
Abakulembeze ba FDC ey'e Katonga abeegattira ku kisinde ki People Front for Freedom PFF batisatiisizza okwekalakaasa nga bawakanya eky'abakulira ekitongole ky'amakomera okwawula Dr Kizza Besigye ku basibe abalala. Okusinziira ku bakyalidde Besigye baamujja dda mu banne so nga tebandyagadde abeere mu kiwuubalo kya Kkomero. Bano babadde bamutwalidde ku bya ssava bya ssekukkulu naye ereme kumuwunyira vvumbe.