Bobi ayanukudde ababuusabuusa enkolagana ye n’obwakabaka
Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi ayanukudde ababbade bagezaako okulaga nti waliwo embiranye wakati we n’obwakakaba bwa Buganda. Kyagulanyi ategeezezza nti enkolagana ye n’obwakaba yamaanyi nyo era agyenyumirizaamu. Asabye ebintongole byokwerinda okulekeraawo okukwata abawagizi b’ekibiina kyakulembera nga babagyetekako emisango egitali mu mateeka.