Bubuuno obukodyo CAA bw’ekozesa okulwanyisa ebinyonyi ku kisaawe
Amawanga mangi gazze gajjumbira omulanga gw’okukuuma kko n’okutaatira ebisolo n’ebinyonyi by’omunsiko. Kino kyongedde ku muwendo gw’ebinyonyi ne bisolo bino naddala wano mu uganda , kyoka kino kitandise ate okufuuka eky’obulabe eri entambula y’omubbanga naddala ennyonyi. Newankubadde olumu obulabe ebinyonyi bwe bitera okuleeta ku nnyonyi tebubeera bw’amaanyi, kikosa obulamu bw’ebinyonyi. Musasi waffe yabaddeko ku kisaawe e Ntebe okwetegereza ebinyonyi engeri gyebitangirwa okutataganya embuuka ze nnyonyi.