EBBAGO KU BUFUMBO: Banakyewa bagamba eby’obugagga bigabanyizibwe kyenkanyi
Abalwanirizi ba Land Rights Defenders abalwanirira eddembe ly’abakazi okufuna obwannanyini ku ettaka baagala mu nnoongoosereza ezikolebwa mu tteeka ly’obufumbo enjuyi zombi omusajja n'omukazi okuteekanga omukono ku biwandiiko nga basobola okugabana ebintu mu bwenkanya nga kuliko n'ettaka lye baba basobodde okukola nga tebanaba kufumbirwagana oba nga bafumbiriganye.
Bano bagamba nti eno y'engeri yokka gye basobola okuleetawo obwenkanya nga ababadde baagalana baawukanaye. Bano babadde balabiseko mu kakiiko ka palamenti ak’eby’amateeka okuwa endowooza yaabwe ku bbago ly’obufumbo erikolebwako.