EBY’ENJIGIRIZA E TEREGO: Amasomero agatandikibwawo okuyambako gali bubi
Obwetaavu bw’amasomero mu district y’e Terego obuva ku muwendo gw’abasomi ogweyongera okulinnya ssaako n’okwagala okukendeeza ku ngendo empanvu abayizi ze batambula okugenda mu masomero ageesudde ekitundu kyabwe, byaviirako abantu b’omu bitundu eby’enjawulo okwekolamu omulimu ne batandikawo amasomero agayitibwa community schools mu lufuutifuuti.Wabula, amasomero gano gaabulwa abagakwata ku mukono nga mu kiseera kíno gali mu mbeera mbi.Abayizi basomera mu bisiikirize bya miti, mu biyumba ebitaggwa n’ebiringa ebyo.Patrick Ssenyondo yabaddeko mu district y’e Terego n’alaba embeera nga bweri .