EBY’OKUTULUGUNYA ABAKWATE: Abeemulugunya ku wa poliisi basabiddwa okuloopa
Poliisi esambazze ebigambo ebisasaanye ku mutimbagano nga biraga ng'omu ku basajja baayo ayitibwa Joel Ntabu bwe yadda ku basibe abaakwatibwa mu kwekalakaasa kw'okuwakanya enguzi natulugunya abo n'ebigere n'awanika. Okusinziira ku mumyuka w'omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owoyesigyire, tebagenda kutambulira ku ngambo zibungeseebwa ku mikutu, nga kale oyo yenna alumiriza Ntabu aveeyo awaabe mu butongole bbo bakole okunoonyereza. Wiiki era ewedde, poliisi yali mu kattu, nga waliwo abalumiriza ab'ebyokwerinda okudda ku basibe be bamu abo ne babakola ebikolwa bya sodoma.