EBYA NNAMBA ZA DIGITO: Ab’ebibanda bya mmotoka bakyakukkuluma olwakasoobo
Abasuubuzi ba mmotoka basabye gavumenti ebeeko ky’ekola okulaba ng'omulimu gw'okuteeka nnamba za digito ku mmotoka empya gwanguwa. Bano batubuulidde nti okufuna nnamba ya digito mu kiseera kino kutwala ebbanga erisukka mu wiiki nnamba ekyonoonye emirimu gyabwe n'okubafiiriza ensimbi. Yo ku nsalo e malaba embeera erongooseemu oluvannyuma lwa gavumenti okwongera ku bakozi abateeka nnamba ku mmotoka eziyingira eggwanga.