Ebyokwerinda ku Ssekukkulu, UPDF ekakasizza bannasi ba Congo
Amaggye g'e Ggwanga agalwanyisa abayeekera mu ggwanga li Congo wansi w'e kikwekweto SHUJAA basiibye bulindaala okwanganga abayeekera ba ADF abatera okukola obulabe ku bannayuganda ne bannansi ba Congo mu kadde ak'ennaku enkulu. Mu buufu buno aduumira ekibinja kino Maj,Gen Richard Otto alambudde ku bajaasi bano n'abakalaatira okukola obutaweeera okulaba nga tewaba muyeekara yenna abayita mu nkwawa. Ayogerera ekikwekweto kino Maj Biral Katamba agumizza bannayuganda naddala abali ku nsalo ya Uganda ne Congo nti mpaawo agenda kubabuzaako mirembe mu kadde kano ak'egandaalo.