Ekittabantu e Rwanda: Waliwo abasabidde emyoyo gy’abaafa e ggolo mu Mpigi
Minisita omubeezi ow’esonga zabaazirwanako Huda Oleru asabye amawanga ga East Africa okwewala ensobi ezaaviirako ekittabantu mu ggwanga lya Rwanda.
Bino yabyogeredde mu kusaba okwenjawulo okwategekeddwa e Golo okujjukira bannansi ba Rwanda abaffira mu kittabantu abaziikibwa mu kitundu ekyo Okusaba kuno kwetabiddwako ababaka b’amawanga agenjawulo