Ekizinga Mpuuga tekirina kaabuyonjo n’emu, abatuuze beeyamba mu nsiko
Embeera y’ebyobuyonjo ku kizinga ky’e Mpuuga mu ggombolola y’e Bwema mu district y’e Buvuma etadde obulamu bw’abatuuze abakibeerako mu katyabaga olw’ekizinga ekiramba okuba nga tekiriiko kaabuyonjo awakyamirwa. Abatuuze bonna bagenda mu nsiko n’abalala mu mazzi ate ge basenako okunywa n’okukozesa. Patrick Ssenyondo y’abadde Buvuma ku kizinga kino ka abituwe.