Embeera y’amasomero: Ag’e Rukiga ne Rubanda geraliikiriza
Okusomooza mu masomero ga gavumenti mu bitundu eby'omu byalo buli lukya kweyongera ekiviiriddeko omutindo gw'ebyenjigiriza mu ggwanga okubeera ogw'ekiboggwe.Mu district y'e Rubanda, Rukiga ne Kabale, kiviiriddeko n'omuwendo gw'abaana abettanira okusoma okwesalira ddala.Tulambudde ku masomero agamu ku gali obubi, abaayo nebatulombojjera obugubi mwebayita okubangula abaana b'eggwanga.