EMIRIMU GY’AWAKA: Waliwo abaagala abasajja nabo bayambeko abakyala
Waliwo ebitongole binnakyewa ebyagala abasajja nabakyala bagabane kyenkanyi mu kukola emirimu gyawaka nga bigamba nti okugirekera abakyala bokka kiriko engeri gye kibalemese okwenyigira mwejo egivaamu ensimbi n'okwekulaakulanya. Ensonga eno ebaddeko okukubaganya ebirowooza mu lukungaana olutegekeddwa ekitongole ki OXFAM ku woteeri ya Onomo e Nakasero. Patrick Ssenyondo yalondodde ebivudde mu kukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno.