Endagamuntu z’eggwanga: NIRA eri mu nteekateeka z’okuzizza obujja
Ekitongole ekivunanyizibwa ku by'endagamuntu ki National Identification and Registration Authority kitegezeza nga bwekirina enteekateeka z'okuzza obujja endagamuntu za banyuganda. Osborn Mushabe omwogezi w'ekitongole kino agamba nnyingi ku ndagamuntu za bannayuganda zisuubirwa okuggwako mu gwokutaano omwaka guno. Mushabe asabye abazadde okulaba nga bawandiisa abaana babawe mu nteekateeka eno bafune nnamba eyenjawulo enaabasobozesa okufuna ndagamuntu gyebujjako.