ENJATIKA MU BBIBIRO LYA ISIMBA: Aba-china abaalizimba bakwatiddwa
Akakiiko ka palamenti akalondoola obugagga obwesibo sako n’ebyamasanyalazze basindiise bannansi bya China banna n’omu Pakistani omu eri poliisi bagiyambeko okukola statement ku by’okukola omulimu gwa gadibengalye ku bbibiro ly’amasanyalaze erya Isimba, era nga mu kiseera kino ebbibiro lino liyinza okubbomoka abantu abali eyo mu 2000 nebakosebwa. Bano okukwatibwa akakiiko kagala bakole obweyamu nti bagenda kutereeza ebyo ebyasoba, okusasula kampuni ya Insuwa, era nga n’omulimu bagala bagukole mu bunnambiro.