Enkozesa ya social media: Waliwo abavumiridde ekya gav’t okwongerako nnati
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu n’abamanyi okutaputa amateeka bakubye ebituli mu nteekateeka ya gavumenti ey’okwongera okuteekawo ebiragiro ebirung'amya enkozesa y’emikutu emigattabantu oba social media. Bano bagamba nti kino kigendereddwamu kunyigiriza banna Uganda naddala abo aboolesa endowooza zaabwe ez’ebyobufuzi n’obukulembeze nga beeyambisa emikutu gino egikolera ku mutimbagano gwa yintanenti.Kiddiridde minisita w’ebyamawulire Chris Baryomunsi okusiinya ku kya gavumenti okuba mu nteekateeka ez’okwongera okumyumyula mu biragiro ebirungamya enkozesa y’emikutu gino okwewala abo abajikozesa obubi.