Essomero lya Kamuwunga terinaggulawo olw’amataba agaalikuba
Amasomero agakyasanze okusomoozebwa okutandika olusoma luno olw'enkizo olw'ebizibu ebitebeereza kirabika nga mangi. Kamuwunga Primary nga lisangibwa mu town council ye Kalungu nalyo ebintu tebinalitambulira bulungi okuva amataba bwe gaalirumba gyebuvuddeko abayizi nebatandika okusomera mu weema. Abalikulira beeraliikiridde abayizi b'ekyomusanvu bebatamanyi bwe banaayita ng'ebisomesebwa byonna tebanabimalayo.