ETTAKA LY’E NAKAWA NE NAGULU: Minisita Mayanja agamba baminisita b’ettaka abaavaako beenyigira mu mivuyo
Minisita omubeezi ow'ettaka Samuel Mayanja alumiriza abamu ku ba minisita beyaddira mu bigere okukoseza obubi wofiisi zabwe nebalagira akakiiko k'ettaka aka Uganda Land Commission okugaba ebyappa ku ttaka lya gavumenti. Mayanja ategezeza akakiiko ka palamenti ak'enjawulo akanonyereza ku ttaka lya Naguru- Nakawa nga akakiiko ka Uganda Land Commission bwekalina obuyinza obwetengeredde okuva ewa pulezidenti ngatekasobola kulagirwa minisita yenna.