Eyabba omwana ku kkanisa: Kkooti emusindise ku alimanda
Kkooti ya LDC mu Kampala esindise omusomesa ku Nakivubo Blue Primary School Sarah Nalubiri ku alimanda e Luzira lwa kubuzaawo omwana ow'emyaka ebiri gyokka okuva ku kkanisa ya Christian Life Focus mu Kisenyi mu Kampala.Ono nga wa myaka 28 kino agambibwa okuba nga yakikola nga 8 Omwezi guno bweyabuzaabuza bakulu b'omwana ayogerwako olwo ye n'abulawo naye.Nalubiri kkamera ennondoozi ze zamuvaamu bwe zaakwata byonna byeyakola kyokka ate oluvannyuma lw'ennaku ntono n'amukomyawo nga awulidde nti amulonze aweebwa obukadde bwa silingi bubiri.Omulamuzi Martin Kirya ategezeezza Nalubiri nti omusango gweyazza gwa nnaggomola nga kale tayinza kwewozaako mu kkooti ye. Ono wakudda mu kaguli nga 7 October nga poliisi bwemaliriza okunoonyereza kwayo.