Francis Zaake emisango gimuvunaanwa mu bukyamu - Charles Onen
Omubaka wa munisipaali ye Mityana Francis Zaake, asanyukidde eky'okuba nti abakulira akakiiko ka palamenti akakwasisa empisa nabo bavuddeyo nebakizuula nti emisango egyamutwazaayo gyonna tegyalimu nsa. Zaake okwogera bino, kiddiridde amyuka ssentebe w'akakiiko kano Charles Onen okutegeeza NTV mu mboozi ey'akafubo nti ekituufu omusajja bulijjo bamulanga bwemage bwe balanga enjobe mu kitoogo. Onen agamba ngi egimu ku misango gino ogw'ebigambibwa nti Zaake yavuma mubaka munne Juliet Kinyamatama, gyandibadde giwawaabirwa ku poliisi so si mu palamenti.