Gavumenti eri mu nteekateeka y'okubala abayizi mu masomero gaayo aga pulayimale
Gavumenti eteekateeka okubala abayizi mu masomero gaayo aga pulayimale ekigendereddwamu okutegeera omuwendo omutuufu ogw’abayizi besasaanyizaako ensimbi z’omuwi w’omusolo. Minisita Omubeezi ow’ebyensimbi Amos Lugoloobi agamba nti kino bakikoze okumalawo emivuyo gyonna n'ebitakwatagana mu nteekateeka eno omuli n'abayizi ab'empewo. Bibadde mu kakiiko ka palamenti ak’ebyenjigiriza.