Kkooti egaanye okugoba emisango gya Besigye, ejunguludde ensonga
Kkooti y'amagye egaanye Okusaba kwa Dr. Kizza Besigye ne munne Obeid Lutale, mwe baabadde baagalira emisango egibavunnanwa gigobwe.Okusaba kuno kwe bayisizza mu bannamateeka baabwe, ababiri baakwesigamizza ku songa ssatu omuli ekyabantu baabulijjo obutawozesebwa mu kkooti y'amagye, eky'okuba nti emisango egibavunaanibwa, bagiddiza bweru wa ggwanga n'eky'okuba nti okukwatibwa kwabwe n'okubakoomyawo kuno kwali Kenya kumenya Mateeka.Ensonga zino zonna Ssenteba wa kkooti eno Brig Gen. Freeman Mugabe azijunguludde bwatyo nagoba okusaba kw'abano