Kkooti ezizzaayo Kizza Besigye mu kkomera e Luzira
Ekitongole ky’amakomera tekirinze kiragiro kuva mu kkooti okuleeta eyavuganyaako ku bwa Pulezidenti Dr. Kiiza Besigye ne munne Obed Lutale, okuwulira okusaba kwabwe kwebateekayo nga beemulugunya ku ky’akulira amakomera saako ne Ssaabawaabi wa gavumenti okubakuumira mu busibe. Kyokka olubadde okulabikako Besigye ne munne baziddwayo mu kkomera e Luzira ku kiragiro ky'omulamuzi Dougalas Singiza ategezeezza nga bw'atayinza kukubiriza kkooti erimu mulwadde. Dr. Besigye nate alabise nga tali mu mbeera nnungi era tasobodde nakufuna gayimirira mu kaguli.