Kyagulanyi asabye ab’e Kisoro okulonda Salim
Ebbugumu lyeyongedde mu kalulu k'okuddamu okulonda omubaka omukyala owa Kisoro akagenda okubaawo ku lwokuna lwa wiiki eno. Olwaleero Pulezidenti wa NUP Robert Kagulanyi Ssentamu ayingidde disitulikiti eno okuwenjeza Sultana Salim eyesimbyewo ku bendera ya NUP akalulu Ono olukungaana alukubye ku Mayors Gardens mu munisipaali y'e Kisoro.