LWAKI MUNGOBA KU TTAKA?: Ow’e 77 yeekubidde enduulu, alumiriza nammwandu wa Brig. Kaboyo
Mu disitulikiti ye Kikuube waliwo omusajja wa myaka 77 asaba gavumenti okumutaasa ku baagala okumusengula ku ttaka kw'awangaalidde okuva mu mwaka 1997. Jackson Mubone yalaajana, ng'agamba nti Ruth Kaboyo Namwandu wa Brigadier General David Kaboyo y’ayagala okumusengula mu lukwesikwesi.