Musasaanye ku ssente zammwe - Abasumba bakubirizza abalokole
Abakkiriza basabiddwa okwejjiramu ddala okweyagaliza, omulugube n'okwefaako bokka bayambe bonna abali mu bwetaavu. Bino byogeddwa okulira enzikiriza y'abalokole wansi w'ekibiina ki Born Again Faith Dr Joseph Sserwadda mu kusaba kwamazaalibwa ku kanisa ya Victory Christian Life Church mu Ndeeba.