Musenene omutali nseenene, abazeetegekera bali mu kiyongobero
Bangi ku mwe eyo muwoomerwa nnyo enseene era mu mwezi guno muba mwesunga kubanga mwezisingira okugwa.
Abalala abagutwala ng’omulimu webutuukira mu gw'ekumi n'ogumu nga bamaze okwetegeka okusobola okwenogera ku nnusu. Naye abaffe kiki ekituuse ku nseenene, emboozi eno gyetukuleetera mwemuli ekyokuddamu.