Ne ku bivvulu tugenda kulondoola abayimbi abawemula - Gavumenti
Abayimbi abatekaateka okuyimba ennyimba eziwemula ku bivvulu ebitegekeddwa mu nnaku enkulu bubakeeredde, kubanga gavumenti yeeweze okubalondoola ebalemese. Minisita w'ekikula ky'abantu Betty Amongi alabudde nga bwe bagenda n'okuvunaana abategesi b'ebivvulu abanetantala okuleeta abayimbi bano okukuba abantu ensonyi. Kinajjukirwa nti ekitongole ky'ebyempuliziganya ki UCC nakyo kyegatta ku lutalo lw'okulwanyisa ennyimba zino, bwekyawera ennyimba z'abayimbi babiri okuli Gereson Wabuyi oba Gravity omutujju ne Yasi Mukasa eyeeyita Lil Pazo okuddamu okuzannyibwa ku mukutu gwonna gwe balondoola.