NETBALL: Prisons ekubye Police ggoolo 57-52
Mu mizannyo gya liigi y’okubaka olwaleero Prisons ekubye Police ggoolo 57-52, NIC newangula UPDF 72 ku 41 ate UCU ekubye Posta ggoolo 60 ku 44 ku kisaawe cya Uganda Prisons e Luzira. Wabula abamu ku batendesi bagamba nti eky’obutakyaza mizannyo gya liigi ku bisaawe bya ttiimu ez’enjawulo kirina engeri gye kikosezza ttiimu ezimu.