Night Ampurire akyagwa mu bintu, bamugulidde amafuta ga mwaka
Omukyala night Ampulire gwe twakulaga mu mawulire gaffe gyebuvudeko negyebuli eno essanyu likyamubuutikira. Olwaleero afunye abazirakisa abalala abasazeewo okumuwa amafuta ga mwaka mulamba nga ttanka bajuzabujjuza. Kampuni ya Vivo Energy nga bakola mu bya mafuta era motoka ya Ampurire baakugiddaabirizanga ku bwerere okumala omwaka mulamba.