Obubbi bw’ebisolo, poliisi erabudde abalunda ku nnaku enkulu
Ng'ebula olunaku lumu okutuuka ku Ssekukulu y'omwaka guno, poliisi etegeezezza nga bw'enyinyitiza ebikwekweto ku bubbi bw'ebisolo, era ng'ebisolo ebisoba mu bikumi 400 okuli ente n'embuzi byebyakanunulwa okuva mu mikono gy'abanyazi. Okusinziira ku Mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Rusoke Kituuma, ebikwekweto bino ebyatandika mwezi oguwedde bikoleddwa mu disitulikiti okuli Luweero, Nakaseke ne Nakasongola. Ono era asabye abalunzi okuba obulindaala naddala mu biseera bino eby'ennaku enkulu.