OBUBBI BWA BODABODA: Gwe bateebereza mu kkoobaane bamutabukidde e Kamuli
Abavuzi ba boda boda mu Kamuli balaajana olw’obubbi n’okuttibwa kwaba bodaboda banaabwe okususse mu kitundu kyabwe. Era waliyo Omukazi awonedde awatono okugajambulwa abagoba ba bodaboda bano ababadde tebasalikako musale nga bamuteebereza okuba mulukwe olwavuddeko okuttibwa kwa munaabwe, eyakubiddwa abantu abatanategeerekeka n'oluvanyuma nebakuuliita ne bodaboda ye mu kiro ekyakesezza olunaku lwaleero. Ssentebbe w’abagoba ba bodaboda mu kamuli, Aloysius Nyenje agamba ekitono ennyo bafiirwa abagoba ba bodaboda basatu buli mwezi.