Obukulembeze bwa Trump manya kye butegeeza eri Abafirika
Ku bbalaza ya ssabiiti eno Donald Trump nate yaddamu nalazizibwa nga pulezidenti wa America owa 47 nga adda mu bigere bya Joe Biden. Kyoka ono olwatudde mu ntebe yatandikiddewo okuyisa amateeka omuli nagatadde abadugavu ku bunkenke naddala bweyeeweze okugoba bonna abali mu ggwanga lino nga tebalina biboogerako. Munywanyi waffe Moses Mukitale ali mu Boston , atukubidde ekifananyi ekiri mu America okuva Trump lweyalayidde.