OKUBBA EBIGEZO BYA P7: Waliwo abasomesa abalala abakwatiddwa
Poliisi etubuulidde nti yakutte abantu 4 lwa kusangibwa na bibuuzo eby’eky’omusanvu ku masimu gaabwe. Abakwate bajjiddwa mu bitundu nga Nabweru ne Ssembabule nga kigambibwa nti babade beenyigira mu kusaasaanya ebibuuzo bino eri abaana nga bayita ku masimu gaabwe. Kati bano baguddwako ggwa kwetaba mu kusomola bigezo by’abayizi.