Okuggala olutindo lwa Karuma: Ab’omumambuka batidde ebyobusuubuzi okugwa
Abamu ku babaka abakiikirira ebitundu ebikola amambuka ga Uganda bagala gavumenti ebeera nnambulukufu ku bbanga ettuufu ly'egenda okukoleramu olutindo lw’e Karuma oluli mu mbeera embi okusinga okusembezayo ebiseera buli kadde.Bano okwogera bino kiddiridde minisita w’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala, okutegeeza nga olutindo lw’e Karuma bwerugenda okuggalwawo nga teri kuddamu kulukozesa wadde emmotoka entono ezibadde zikirizibwako okumala emyezi esatu nga lugenda kuddaabirizibwa.