Okugoba abeesenza mu Lubigi:Olukiiko lwabwe ne Lukwago luyiiriddwa
Poliisi erinnye eggere mu lukiiko olwayitiddwa abakulembeze b'e Kawaala okwogera ku ky'ekitongole ki NEMA okulamba amayumba g'abantu agawerako, n'ekigendererwa eky'okugamenya. Olukiiko luno olubadde lwetabiddwako Loodi Meeya, Erias Lukwago n'omubaka w'ekitundu kino, era nga kisaliddwawo nti enkya abakulembeze bano baakusisinkana n'ekitongole ki NEMA okwongera okwogerezeganya ku nsonga zino.