Okulwanyisa envuba embi: ababaka baagala etteeka likole
Ababaka abakiikirira ebitundu ebirimu abavubi mu ggwanga batadde minisitule y’ebyobuvubi ku nninga okukola ebiragiro ebinaagobererwa okuteeka eteeka erirungamya omulumi gw’ebyobuvubi mu nkola.Bano bagamba nti okubulawo kw’ebiragiro ebiteekese eteeka lino mu nkola kivuddeko okutulugunya abavubi ssaako n’okubonoonera ebyabwe nga n’abamu baluguze mu obulamu.Kino wekijjidde, ng’abali ku mulimu gw'okulondoola omulimu gw'obuvubi bawa ebiragiro ebikontana, nga waliwo abawera abavubi okuvuba mukene, ate abalala nebabakkiriza.