Okulwanyisa kasasiro mu bibuga:Fort Portal yazuula dda amagezi
Ng'ekibuga Kampala kikyatawaana n'ekizubu kya kasasiro oluvannyuma lw'enjega eyagwa e Kiteezi, abaddukanya ekibuga Fort Portal baliko engeri gye bakwasaganya Kasasiro oba olyawo ewa ekyokuyiga eri ebibuga ebirala. Bano kasasiro bamukungaanyiza mu kifo ekiyitibwa kitere ng'eno gyabamusunsulira ne bamukolamu ebigimusa. Twatuuseeko e Fort Portal.