OKUSIBA EMIFUMBI Lubega yeesunze kwetaba mu mpaka z’e Dubai
Godfrey Lubega omuzannyi wa body building oba guyite omuzannyo gw’emifumbi wa kwolekera Dubai omwezi ogujja gy'agenda okuttunkira ne banne abali ku mutendera gw’ensi yonna n’ekigendererwa eky’okutandika okuzannyira ensimbi oba kiyite Pro Card. Empaka z’agenda okuttunkiramu zimanyiddwa nga IFBB Classic Dubai Beach Championship nga ziri ku mutendera gwansi yonna.