OKUTAASA KKKOOTI Y’AMAGYE:Museveni ayise ababaka ba NRM bogeremu
Ababaka ba palamenti banna NRM bonna bayitiddwa ku lwokutaano lwa ssabiiti eno bakaanye ku nsonga ezibagatta nga ekibiina. Tukitegedde nti bano okusinga obudde baakubuwaayo okuteesa ku nongosereza zebaagala zitekebwe mu teeka lyamaggye li UPDF ACT , kooti yamaggye eddemu okuweebwa obuyinza omuli nobuwozesa abantu ba bulijjo abanaasangibwanga n’ebyokulwanyisa kabibe ebyambalo by’ekinamaggye.