OKUYAMBA KU BY’OBUTABANGUKO MU MAKA: E Luwero waliwo abavubuka abali mu kubangulwa
Ebikolwa by’okutulugunya, okukabasanya nga kwotadde obutabanguko mu maka byakyaaka nnyo mu kiseera ky’omuggalo ogwaletebwa ekirwadde kya Covid-19. Abawala baangi abakakibwa omukwano nebafuna n’embuto era kati bazaala dda newankubadde baali tebanamaliriza misomo gyabwe. Ekyewunyisa nti ate abasajja ababazaalamu babasuulawo nebatatwala obuvunanyizibwa bwa kubalabirira. Kati waliwo abavubuka abatendekebwa mu bitundu bye Luwero eyo okuyamba ku bannabwe abayita mu mbeera bweti.