Minsa Kabanda asabye ab’e Makindye okukomya okwerumaruma
Abakulembeze b’a NRM mu Gombolola y’e Makindye balabuddwa okukomya entalo n’egyawuka wakati waabwe okusobola okuwangula ebifo ebisinga mu Kalulu ka bonna aka 2026 akabindabinda.Bino byogededdwa Minster wa Kampala Hajati Minsa Kabanda n’abakulembeze abalala ku mukolo ogubade ogwokutongoza Campaign z’e kibiina mu Gombolola eno.Bano era basabiddwa okwetanira entekateka za Gavument ez'okwekulaakulanya okuli PDM ,EMYOGA nendala okusobola okwegya mubwavu.