Museveni akunze abakulembeze b’amawanga ga Africa okuteeke essira ku by’obulimi
Omukulembeze w’egganga Yoweri Museveni agamba nti Africa esobola okufuuka kirimaanyi singa eteeka essira ku by’obulimi. Museveni bino abyogeredde mu lukungaana lw’ekibiina kya Africa Union ku by’obulimi n’ebyemmere olukomekkerezeddwa olwaleero e Munyonyo. Olukungaana luno lwetabiddwako abakulembeze b’amawanga ga Africa agenjawulo.