Omugga Semulik gweyongedde okulya ettaka ly’abatuuze e Ntoroko
Okubumbulukuka kw’ettaka ku lubalama lw’omugga Semulik mu district ya Ntoroko kweraliikirizza abawangaalira mu bitundu bino olw’ettaka lyabwe okutwalibwa omugga. Abakulembeze kino bakitadde ku bantu abalundira ku mbalama z’omugga guno n’abakolerako ebintu ebirala. Basabye gavumenti okuyamba etindire omugga guno oguzze gukyusa obuufu gye guyita ne guyingirira oluuyi lwa Uganda mita 300 okuva ku nsalo ezaasooka gye gwali gukuluggukira.