Waliwo famire etadde omuko ku nninga ku by’omukazi eyabula
Waliwo famile eri mu kuwanjaga oluvannyuma lwa muwala waabwe gwe baafumbiza emyaka esatu n’ekitundu emabega okubula mu maka gye baamufumbiza. Muwala waabwe agenze okubula mu bufumbo nga bba alumiriza nti abadde yatabuka omutwe oluvannyuma lw’okuzaala omwana waabwe eyasooka. Kino abazadde bakiwakanya nga bagamba muwala waabwe baamumuwa mulamu bulungi.Poliisi eri ku muyiggo gw’okuzuula omukyala ono nga kaakano anaatera okuweza omwezi nga tamanyiddwako mayitire.