Nankulu wa KCCA alambudde ebifo ebyenjawulo mu Kampala
Kasasiro ky’ekimu ku bizibu Nankulu wa KCCA omuggya Sharifa Buzeki, byatandikiddeko okulaba ngagonjoola. Olwaleero ngali n’omumyuka we Benon Kigenyi kko nabakulu abalala mu KCCA, alambudde ebifo ebyenjawulo mu Kampala omuli n’obutale okulaba obunene bw’ekizibu kino.