Abatuuzi ku kyalo Busambaga bali mu kuzimba woofiisi z’abakulembeze baabwe
Ba ssentebe b’ebyalo ebisinga mu ggwanga balamulira mu maka gaabwe webasinziira okuddukanyiza emirimu gy’ekyalo Kyokka ku kyalo Busambaga ekisangibwa mu Munisipaali y’e Ntebe, abatuuze nga bali wamu n’abakulembeze baabwe bali mu kuzimba kizimbe kwebagenda okuteeka woofiisi eziddukanya ensonga z’ekyalo Ekigendererwa ky’abano kwekubeera ekyokulabirako eri ebyalo ebirala era ng’ensimbi ezikola bino byonna bazesondamu.